Exodus 32:11 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye Musa ne yeekuba ku Mukama Katonda we, n'agamba nti: “Ayi Mukama, lwaki obusungu bwo bweseredde ku bantu bo be waggya mu Misiri mu buyinza obunene n'omukono ogw'amaanyi?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye Musa ne yeegayirira Mukama Katonda we, n’agamba nti, “Lwaki obusungu bwo bubuubuukira abantu bo be waggya mu nsi y’e Misiri n’obuyinza, awamu n’omukono gwo ogw’amaanyi?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Musa ne yeegayirira Mukama Katonda we, n'ayogera nti, “Mukama kiki ekibuubuusizza ennyo obusungu bwo ku bantu bo, be waggya mu nsi y'e Misiri n'amaanyi amangi, n'omukono ogw'obuyinza?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye Musa ne yeegayirira Mukama Katonda we, n'agamba nti: “Mukama lwaki omalira obusungu bwo ku bantu bo, be waggya mu nsi y'e Misiri, ng'okozesa amaanyi amangi era n'obuyinza?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Musa ne yeegayirira Mukama Katonda we, n'ayogera nti Mukama, kiki ekyasizza ennyo obusungu bwo ku bantu bo, be waggya mu nsi y'e Misiri n'amaanyi amangi n'omukono ogw'obuyinza?