Exodus 32:12 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Lwaki Abamisiri bandigambye nti: ‘Yabaggyayo na mutima mubi abawemmentere mu nsozi, abasaanyeewo ku nsi?’ Leka obusungu bwo obwesera. Weddemu ku kabi kano ku bantu bo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Lwaki okwogeza Abamisiri nti, ‘Yabatwala ng’agenderedde kubakola kabi, abattire mu nsozi, abazikirize, bave ku nsi?’ Nyiigulukuka, obusungu obubuubuuka bukuveeko, oleme kuleeta bulabe ku bantu bo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Lwaki owa Abamisiri omwaganya okwogera nti, Yabajja mu Misiri ng'agenderedde okubattira ku nsozi abasaanyizeewo ddala? Leka obusungu bwo obukambwe, okyuse oleme okubonereza abantu bo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Lwaki okuleka Abamisiri okugamba nti: ‘Yabaggya mu Misiri, ng'agenderedde okubattira mu nsozi, n'okubasaanyizaawo ddala ku nsi?’ Leka obusungu bwo obukambwe. Weerowooze, oleme kutuusa kabi ako ku bantu bo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Lwaki okwogeza Abamisiri nti Yabaggiramu obubi, okubattira ku nsozi, n'okubazikiriza okuva ku maaso g'ensi? Oleke obusungu bwo obukambwe, ojjulukuke oleke obubi obwo eri abantu bo.