Exodus 32:13 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Jjukira Yiburayimu, Yizaake ne Yisirayeli abaweereza bo, ggwe wennyini be walayirira n'obasuubiza nti: ‘Bazzukulu bammwe ndibawa okwala ng'emmunyeenye ez'eggulu, n'ensi eno yonna gye nasuubiza nti ndigiwa abazzukulu bammwe, n'eba busika bwabwe emirembe gyonna.’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Jjukira abaweereza bo Ibulayimu, ne Isaaka, ne Isirayiri, be walayirira ggwe kennyini, n’obagamba nti, ‘Ndyaza bazzukulu bammwe ng’emmunyeenye ez’oku ggulu, era n’ensi eno gye mbasuubizza ndigiwa bazzukulu bammwe, era eribeera omugabo gwammwe ennaku zonna.’ ”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Jjukira Ibulayimu, Isaaka, ne Isiraeri, abaweereza bo, be weerayirira wekka n'obagamba nti, ‘Ndyongera ezzadde lyammwe ng'emmunyeenye ez'omu ggulu, n'ensi eyo yonna gye njogeddeko ndigiwa ezzadde lyammwe, nabo baligisikira emirembe gyonna.’ ”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Jjukira abaweereza bo Aburahamu ne Yisaaka ne Yakobo, ggwe wennyini be weerayirira n'ogamba nti: ‘Ndibawa abazzukulu bangi ng'emmunyeenye ez'oku ggulu, n'ensi eno yonna gye mbasuubizza mmwe, ndigiwa bazzukulu bammwe, ebe yaabwe emirembe gyonna!’ ”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ojjukire Ibulayimu, Isaaka, ne Isiraeri, abaweereza bo, be weerayiririra wekka n'obagamba nti Ndyongera ezzadde lyammwe ng'emmunyeenye ez'omu ggulu, n'ensi eyo yonna gye njogeddeko ndigiwa ezzadde lyammwe, nabo baligisikira emirembe gyonna.