Exodus 32:15 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Musa n'akyusa, n'aserengeta olusozi, ng'akutte empande ebbiri ez'Endagaano, empande nga ziwandiikiddwako ku njuyi zombi mu maaso n'emabega.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Musa n’aserengeta okuva ku lusozi ng’akutte mu mikono gye ebipande ebibiri eby’Endagaano, nga biwandiikiddwako ku njuyi zombi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Musa n'akyuka, n'aserengeta okuva ku lusozi, ng'alina ebipande bibiri eby'obujulirwa mu ngalo ze; ebipande ebyawandiikibwako ku njuyi zaabyo zombi; byawandiikibwako eruuyi n'eruuyi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Musa n'avaayo, n'aserengeta okuva ku lusozi, ng'akutte mu ngalo ze, ebipande by'amayinja ebibiri, ebiwandiikiddwako ebiragiro ku njuyi zaabyo zombi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Musa n'akyuka, n'aserengeta okuva ku lusozi, ng'alina ebipande bibiri eby'obujulirwa mu ngalo ze; ebipande ebyawandiikibwako ku njuyi zaabyo zombi; byawandiikibwako eruuyi n'eruuyi.