Exodus 32:17 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yoswa bwe yawulira oluyoogaano lw'abantu nga baleekaana, n'agamba Musa nti: “Waliyo enduulu y'olutalo mu lusiisira.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yoswa bwe yawulira oluyoogaano lw’abantu nga baleekaana, n’agamba Musa nti, “Mu lusiisira eriyo okuyoogaana ng’okw’olutalo.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yoswa bwe yawulira oluyoogaano lw'abantu n'agamba Musa nti, “Mpulira abantu mu lusiisira nga baleekaana ng'abalwana.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yoswa bwe yawulira abantu nga baleekaana, n'agamba Musa nti: “Mpulira abantu mu lusiisira, nga baleekaana ng'abalwana.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yoswa bwe yawulira eddoboozi ly'abantu nga boogerera waggulu, n'agamba Musa nti Waliwo eddoboozi ery'okulwana mu lusiisira.