Exodus 32:18 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Musa n'amuddamu nti: “Si ddoboozi lya buwanguzi, si ddoboozi lya kuwangulibwa; wabula ddoboozi lya kuyimba lye mpulira.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye n’amuddamu nti, “Siwulira maloboozi galeekaana olw’obuwanguzi, oba amaloboozi g’okwaziirana olw’okuwangulwa, naye maloboozi ga kuyimba ge mpulira.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'ayogera nti, “Eryo si ddoboozi lyabo aboogerera waggulu olw'okuwangula, so si ddoboozi lyabo abakaaba olw'okugobebwa; naye eddoboozi lyabo abayimba lye mpulira.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Musa n'agamba nti: “Eryo si ddoboozi ly'abaleekaana olw'obuwanguzi oba ery'abakaaba olw'okuwangulwa naye ddoboozi ly'abayimba lye mpulira.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'ayogera nti Eryo si ddoboozi lyabo aboogerera waggulu olw'okuwangula, so si ddoboozi lyabo abakaaba olw'okugobebwa: naye eddoboozi lyabo abayimba lye mpulira.