Exodus 32:19 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe yasemberera olusiisira, n'alaba akayana n'abazina, obusungu bwa Musa ne bwesera, n'akasuka wansi empande ze yali akutte, n'azaasiza wansi w'olusozi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye Musa bwe yasemberera olusiisira, n’alengera ennyana, n’alaba n’amazina; obusungu bwe ne bubuubuuka, n’asuula eri ebipande ebyali mu mikono gye, ne bimenyekera awo wansi w’olusozi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo olwatuuka bwe yasemberera olusiisira, n'alyoka alaba ennyana n'abazina; obusungu bwa Musa ne bubuubuuka nnyo, n'akasuka ebipande ebyalimu ngalo ze, n'abimenyera wansi w'olusozi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Musa bwe yasemberera olusiisira, n'alaba ennyana n'abazina, n'asunguwala nnyo, n'akasuka ebipande by'amayinja bye yali akutte mu ngalo ze, n'abyasiza wansi w'olusozi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olwatuuka bwe yasemberera olusiisira, n'alyoka alaba ennyana n'abazina: obusungu bwa Musa ne bwaka nnyo, n'akasuka ebipande mu ngalo ze, n'abimenyera wansi w'olusozi,