Exodus 32:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Aroni n'abaddamu nti: “Muggye empeta eza zaabu ku matu g'abakazi bammwe, batabani bammwe ne bawala bammwe muzindeetere.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Alooni n’abaddamu nti, “Mwambule empeta eza zaabu, bakyala bammwe, ne batabani bammwe, ne bawala bammwe ze bambadde ku matu gaabwe, muzindeetere.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Alooni n'abagamba nti, “ Muggyeeko empeta eza zaabu eziri ku matu g'abakazi bammwe, n'ag'abaana bammwe ab'obulenzi n'ab'obuwala, muzindeetere.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Arooni n'abagamba nti: “Muggyeeko empeta eza zaabu eziri ku matu ga bakazi bammwe, n'ag'abaana bammwe ab'obulenzi n'ab'obuwala, muzindeetere.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Alooni n'abagamba nti Mumenye ku mpeta eza zaabu, eziri mu matu g'abakazi bammwe, n'ag'abaana bammwe ab'obulenzi n'ab'obuwala, muzindeetere.