Exodus 32:20 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'akwata akayana ke baali bakoze n'akookya mu muliro, n'akasa ne kafuuka nfuufu, n'agimansa ku mazzi, n'aganywesa Abayisirayeli.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’addira ennyana gye baali bakoze n’agyokya mu muliro n’agisekulasekula, n’agimerungulira ddala ng’olufuufu; olufuufu n’alumansa ku mazzi n’agawa abaana ba Isirayiri ne baganywa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'atwala ennyana gye baali bakoze, n'agyokya n'omuliro, n'agisekulasekula, n'agimansira ku mazzi, n'aganywesaako abaana ba Isiraeri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'addira ennyana gye baali bakoze, n'agisaanuusa n'omuliro, n'agisekulasekula, n'efuuka ng'enfuufu, n'agitabula mu mazzi, n'aginywesa Abayisirayeli.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'atwala ennyana gye baali bakoze, n'agyokya n'omuliro, n'agisekulasekula, n'agimansira ku mazzi, n'aganywesaako abaana ba Isiraeri.