Exodus 32:22 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Aroni n'addamu nti: “Obusungu bwo buleme kwesera butyo, ssebo; naawe omanyi abantu bano bwe beewunzikira ku bubi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Alooni n’amuddamu nti, “Tonnyiigira nnyo, mukama wange, naawe abantu bano obamanyi, ng’emitima gyabwe bwe gyamanyiira okwonoona.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Alooni n'ayogera nti, “Obusungu bwa mukama wange buleme okubuubuuka ennyo; gw'omanyi abantu bano, nga bagobererera ddala obubi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Arooni n'addamu nti: “Mukama wange, tonsunguwalira, omanyi ng'abantu bano bulijjo balowooza kukola bibi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Alooni n'ayogera nti Obusungu bwa mukama wange buleme okubuubuuka ennyo: gw'omanyi abantu bano, nga bagobererera ddala obubi.