Exodus 32:24 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne mbagamba nti: ‘Ani alina zaabu amweggyeko?’ Ne bamumpa, ne mmusuula mu muliro ne muvaamu akayana kano.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Nange kwe kubagamba nti, ‘Buli alina ebya zaabu abyeyambuleko,’ ne babimpa ne mbiteeka mu muliro, ne bivaamu ennyana eno.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne mbagamba nti, ‘Buli alina zaabu yonna yonna, agyeggyeko;’ awo ne bagimpa, ne ngiteeka mu muliro, ne muvaamu ennyana eno.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nze ne mbagamba nti: ‘Buli alina zaabu amuleete.’ Ne bamumpa, ne mmuteeka mu muliro, ne muvaamu ennyana eno.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne mbagamba nti Buli alina zaabu yonna yonna, bagimenyeko; awo ne bagimpa: ne ngiteeka mu muliro, n'ennyana eno n'evaamu.