Exodus 32:25 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Musa bwe yalaba ng'abantu bataamuse, kubanga Aroni yali abalese okutaamuuka ne bafuuka kya kusekererwa mu balabe baabwe,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Musa bwe yalaba ng’abantu basasamadde, nga Alooni yali abalese ne basasamala, era ng’abalabe baabwe babasekerera,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Musa nnalaba abantu nga bajagaladde; kubanga Alooni yabaleka okujagalala, kye kyabatuusa ku kusekererwa abalabe baabwe;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Musa bwe yalaba nga Arooni alese abantu okujeema ne basekererwa abalabe baabwe,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Musa bwe yalaba ng'abantu bajeemye; kubanga Alooni yabajeemya okusekererwa abalabe baabwe: