Exodus 32:26 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
n'ayimirira ku wankaaki w'olusiisira n'aleekaana nti: “Buli ali ku ludda lw'Omukama, ajje gye ndi.” Abaleevi bonna ne bamukuŋŋaanirako.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
n’ayimirira mu mulyango gw’olusiisira, n’agamba nti, “Ani ali ku ludda lwa Mukama? Ajje wano we ndi.” Awo batabani ba Leevi bonna ne bakuŋŋaanira w’ali.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Musa n'alyoka ayimirira mu wankaaki w'olusiisira, n'ayogera nti, “Buli muntu ali ku lwa Mukama, ajje gye ndi.” Abaana bonna aba Leevi ne bakuŋŋaana gy'ali.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
n'ayimirira mu mulyango gw'olusiisira, n'agamba nti: “Buli ali ku ludda lwa Mukama ajje gye ndi.” Abaleevi bonna ne bakuŋŋaanira w'ali.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Musa n'alyoka ayimirira mu wankaaki w'olusiisira, n'ayogera nti Buli muntu ali ku lwa Mukama, ajje gye ndi. Abaana bonna aba Leevi ne bakuŋŋaana gy'ali.