Exodus 32:27 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'abagamba nti: “Omukama Katonda wa Yisirayeli bw'ati bw'agambye: ‘Buli musajja ayambalire ekitala kye ku lukugunyu, mutalaage mu lusiisira mulyango ku mulyango buli omu ng'atta muganda we, mukwano gwe ne muliraanwa we.’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’abagamba nti, “Bw’ati Mukama Katonda wa Isirayiri bw’ayogera nti, ‘Buli musajja yeesibe ekitala kye mu kiwato kye, muyiteeyite mu nsiisira okuva ku ludda olumu okutuuka ku ludda olulala, nga buli musajja atta muganda we ne mukwano gwe, ne muliraanwa we.’ ”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'abagamba nti, “Bw'ati bw'ayogera Mukama, Katonda wa Isiraeri, nti, ‘Buli muntu akwate ekitala kye, ayiteeyite mu miryango gyonna mu lusiisira lwonna, atte mugandawe, muntu munne, ne muliraanwa we.’ ”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'abagamba nti: “Mukama Katonda wa Yisirayeli agamba nti: ‘Buli omu ku mmwe akwate ekitala kye, ayiteeyite mu lusiisira, okuva ku mulyango ogumu, okutuuka ku mulyango omulala, atte baganda be ne mikwano gye, ne baliraanwa be.’ ”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'abagamba nti Bw'ati bw'ayogera Mukama, Katonda wa Isiraeri, nti Muteeke buli muntu ekitala kye ku kisambi kye, muddiiŋŋane mu miryango gyonna mu lusiisira lwonna, mutte buli muntu muganda we, na buli muntu munne, na buli muntu muliraanwa we.