Exodus 32:28 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abaleevi ne batuukiriza ekiragiro kya Musa; mu bantu ne mufaamu abasajja ng'enkumi ssatu olunaku olwo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abaleevi ne bakola nga Musa bwe yabalagira; era ku lunaku olwo abantu ng’enkumi ssatu ne battibwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abaana ba Leevi ne bakola ng'ekigambo kya Musa; ku lunaku olwo abantu ne bafa ng'enkumi ssatu (3,000).
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abaleevi ne bakola nga Musa bwe yalagira: ne batta abantu ng'enkumi ssatu ku lunaku olwo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abaana ba Leevi ne bakola ng'ekigambo kya Musa: ne bafa ku bantu ku lunaku luli abasajja nga nkumi ssatu.