Exodus 32:29 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Musa n'agamba nti: “Leero mweyawulidde Omukama, kubanga buli omu awakanyizza mutabani we oba muganda we n'amutta, bw'atyo n'abawa omukisa olwa leero.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Musa n’agamba nti, “Mwawuddwa leero eri Mukama, bwe musse buli omu mutabani we, era ne muganda we; Mukama abawadde omukisa ku lunaku lwa leero.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Musa n'ayogera nti, “Mwetukuzza eri Mukama, kuba buli omu ku mmwe akkirizza okutta omwana we ne mugandawe, Mukama alyoke akuwe omukisa leero.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Musa n'agamba Abaleevi nti: “Olwaleero mwewaddeyo okuweereza Mukama, wadde nga mufiiriddwa abaana bammwe ne baganda bammwe, Mukama alyoke abawe mmwe omukisa.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Musa n'ayogera nti Mwetukuze leero eri Mukama, newakubadde okulwana buli muntu n'omwana we, era ne muganda we; alyoke abawe leero omukisa.