Exodus 32:30 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Enkeera, Musa n'agamba abantu nti: “Mukoze ekibi kinene. Naye ka nnyambuke eri Omukama, ndabe oba nnaayinza okuddaabiriza olw'ekibi kyammwe.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Enkeera Musa n’agamba abantu nti, “Mwonoonye nnyo. Naye nze ka ŋŋende eri Mukama ndabe obanga nnaatangiririra ekibi kyammwe.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo bwe bwakya enkya, Musa n'agamba abantu nti, “Mwayonoonye ekyonoono ekinene; ne kaakano nnaalinnya eri Mukama; mpozzi n'akola ekinaatangirira olw'ekyonoono kyammwe.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Enkeera Musa n'agamba abantu nti: “Mukoze ekibi kinene nnyo! Kaakano ka nnyambuke eri Mukama, oboolyawo nnaabafunira ekisonyiwo olw'ekibi kyammwe.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olwatuuka enkya Musa n'agamba abantu nti Mwayonoonye ekyonoono ekinene: ne kaakano naalinnya eri Mukama; mpozzi naakola ekinaatangirira olw'ekyonoono kyammwe.