Exodus 32:31 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Musa n'adda eri Omukama, n'agamba nti: “Yii, abantu bano ekibi kye bakoze nga kinene! Beekoledde lubaale owa zaabu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bw’atyo Musa n’addayo eri Mukama, n’agamba nti, “Kitalo! Abantu bano nga boonoonye nnyo; bwe beekoledde bakatonda aba zaabu!
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Musa n'addayo eri Mukama, n'ayogera nti, “Woo, abantu abo bayonoonye ekyonoono ekinene, ne beekolera katonda owa zaabu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Musa n'addayo eri Mukama, n'agamba nti: “Kitalo! Abantu bano bakoze ekibi kinene nnyo: beekoledde balubaale aba zaabu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Musa n'addayo eri Mukama, n'ayogera nti Woo, abantu abo bayonoonye ekyonoono ekinene, ne beekolera bakatonda aba zaabu.