Exodus 32:34 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kati ggwe genda okulembere abantu, obatwale mu kifo kye nnaakubuulira. Laba malayika wange anaakukulembera, naye ku lunaku olw'okubonereza, ndibabonereza olw'ekibi kyabwe.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kaakano genda otwale abantu mu kifo ekyo kye nakutegeeza; era, laba, malayika wange ajja kukukulembera. Naye ekiseera nga kituuse okubabonereza ndibabonerereza ddala olw’ekibi kyabwe.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne kaakano genda, otwale abantu mu kifo kye nnakugambako; laba, malayika wange anaakukulemberanga; era naye ku lunaku luli lwe ndiwalana, ndibawalanako ekibi kyabwe.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kaakano genda, otwale abantu mu kifo kye nakutegeezaako. Kale malayika wange anaakukulemberanga. Naye ekiseera kijja kutuuka mbonereze abantu bano olw'ekibi kyabwe.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne kaakano genda, otwale abantu mu kifo kye nnakugambako: laba, malayika wange anaakukulemberanga: era naye ku lunaku luli lwe ndiwalana, ndibawalanako ekibi kyabwe.