Exodus 32:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
n'azibaggyako, n'ekyuma ekyola n'azikolamu akayana akasaanuuse. Ne baleekaana nti: “Yisirayeli, Katonda wo wuuno, eyakuggya mu nsi y'e Misiri.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Alooni n’azisaanuusa; zaabu eyavaamu n’agibumbamu ennyana, ng’agirongoosa n’ekyuma. Ne balyoka boogera nti, “Bano be bakatonda bo ggwe Isirayiri abaakuggya mu nsi y’e Misiri!”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'azitoola mu ngalo zaabwe, n'aziwumba n'ekyuma ekisala, n'azisanuusa, n'azikolamu ennyana; ne boogera nti, “Ono ye katonda wo, ggwe Isiraeri, eyakuggya mu nsi y'e Misiri.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'azibaggyako, n'azisaanuusa, zaabu n'amuyiwa mu lutiba, n'akolamu ennyana. Abantu ne bagamba nti: “Yisirayeli, bano be balubaale abaakuggya mu nsi y'e Misiri.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'agitoola mu ngalo zaabwe, n'agiwumba n'ekyuma ekisala, n'agifuula ennyana ensaanuuse: ne boogera nti Bano be bakatonda bo, ggwe Isiraeri, abaakuggya mu nsi y'e Misiri