Exodus 32:5 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Aroni yalaba guli gutyo, n'azimba omwaliiro mu maaso gaako. N'alangirira nti: “Enkya enaaba mbaga olw'Omukama.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Alooni bwe yalaba ebyo, n’azimba ekyoto mu maaso g’ennyana, n’alyoka alangirira nti, “Enkya tujja kukolera Mukama embaga.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Alooni bwe yalaba bw'atyo, n'azimba ekyoto mu maaso gaayo; Alooni n'alangirira n'ayogera nti, “Enkya wanaabeera embaga ya Mukama.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Arooni bwe yalaba ennyana eyo, n'azimba alutaari mu maaso gaayo, n'alangirira nti: “Enkya wanaabeerawo embaga okussaamu Mukama ekitiibwa.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Alooni bwe yalaba, n'azimba ekyoto mu maaso gaayo; Alooni n'alangirira n'ayogera nti Enkya wanaabeera embaga eri Mukama.