Exodus 32:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abantu ne bakeera ku lunaku olwaddirira, ne baweereza ebitambiro ebyokye, ne baleeta ebitambiro eby'okussa ekimu; awo abantu bonna ne batuula wansi okulya n'okunywa, ne basituka okwesanyusa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo enkeera, abantu ne bazuukuka mu makya, ne bawaayo ebiweebwayo ebyokebwa, ne baleeta n’ebiweebwayo olw’emirembe; ne batuula ne balya era ne banywa, ne basituka ne bakola effujjo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne bagolokoka enkya mu makya, ne bawaayo ebiweebwayo eby'okwokya, ne baleeta ebiweebwayo olw'emirembe; abantu ne batuula okulya n'okunywa, ne bagolokoka ne bakola ebitasaana.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Enkeera ne bazuukuka mu makya, ne bawaayo ebitambiro eby'okwokya, n'ebirala ebiriirwa awamu olw'okutabagana. Abantu ne batuula ne balya era ne banywa, ne basituka okuzina.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne bagolokoka enkya mu makya, ne bawaayo ebiweebwayo eby'okwokya, ne baleeta ebiweebwayo olw'emirembe; abantu ne batuula okulya n'okunywa, ne bagolokoka okuzannya.