Exodus 32:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo Omukama n'ayogera ne Musa n'agamba nti: “Genda, kkirira; anti abantu bo be waggya mu nsi y'e Misiri bakoze ekibi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama n’agamba Musa nti, “Serengeta, kubanga abantu bo be waggya mu nsi ey’e Misiri boonoonye;
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama n'agamba Musa nti, “Genda oserengete; kubanga abantu bo be waggya mu nsi y'e Misiri beeyonoonyesezza;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama n'agamba Musa nti: “Serengeta oddeyo, kubanga abantu bo, be waggya mu nsi y'e Misiri, boonoonye.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama n'agamba Musa nti Genda oserengete; kubanga abantu bo be waggya mu nsi y'e Misiri beeyonoonyesezza: