Exodus 32:8 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Tebaludde kuva mu kkubo lye nabalagira; beekoledde akayana akasaanuuse ne bakasinza n'okukasinza, ne bakatambirira nga bwe bagamba nti: ‘Yisirayeli, ono ye Katonda wo, eyakuggya mu nsi y'e Misiri.’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
bavudde mangu mu kkubo lye nabalagira; beekoledde ennyana ensaanuuse ne bagisinza, ne bagireetera ebiweebwayo, ne boogera nti, ‘Bano be bakatonda bo, ggwe Isirayiri, abaakuggya mu nsi y’e Misiri!’ ”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
bakyamye mangu ne bava mu kkubo lye nnabalagira; beekoledde ennyana ensaanuuse, ne bagisinza, ne bagiwa ssaddaaka, ne boogera nti, ‘Bano be bakatonda bo, ggwe Isiraeri, abaakuggya mu nsi y'e Misiri.’ ”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bavudde mangu mu kkubo lye nabalagira okutambulirangamu. Beekoledde ennyana mu zaabu, ne bagiwa ebitambiro, ne bagamba nti: ‘Yisirayeli, bano be balubaale abaakuggya mu nsi y'e Misiri.’ ”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
bakyamye mangu ne bava mu kkubo lye nnabalagira: beekoledde ennyana ensaanuuse, ne bagisinza, ne bagiwa ssaddaaka, ne boogera nti Bano be bakatonda bo, ggwe Isiraeri, abaaku ggya mu nsi y'e Misiri: