Exodus 33:1 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama n'agamba Musa nti: “Vva mu kifo kino wamu n'abantu be waggya mu nsi y'e Misiri, ogende mu nsi gye nalayirira Yiburayimu ne Yizaake ne Yakobo nti: ‘Ndigiwa ezzadde lyo.’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Mukama n’agamba Musa nti, “Vva mu kifo kino ogende, ggwe n’abantu be waggya mu nsi y’e Misiri, olage mu nsi gye nalayirira Ibulayimu ne Isaaka, ne Yakobo, nga njogera nti, ‘Ndigiwa bazzukulu bammwe.’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama n'agamba Musa nti, “Mugende mulinnye okuva wano, ggwe n'abantu be waggya mu nsi y'e Misiri, muyingire mu nsi gye nnalayirira Ibulayimu, Isaaka, ne Yakobo, nga njogera nti, ‘Ndigiwa ezzadde lyo;’
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama n'agamba Musa nti: “Ggwe n'abantu be waggya mu nsi y'e Misiri, muve mu kifo kino, muyingire mu nsi gye nalayirira Aburahamu, Yisaaka ne Yakobo, nga ŋŋamba nti: ‘Ndigiwa bazzukulu bammwe.’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama n'agamba Musa nti Mugende mulinnye okuva wano, ggwe n'abantu be waggya mu nsi y'e Misiri, muyingire mu nsi gye nnalayirira Ibulayimu, Isaaka, ne Yakobo, nga njogera nti Ndigiwa ezzadde lyo: