Exodus 33:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abantu bonna bwe baalabanga empagi y'ekire nga yeesimbye ku mulyango gwa Weema, ne basituka, ne bavunnama, buli omu ku mulyango gwa weema ye.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abantu bwe baalabanga ng’empagi ey’ekire eyimiridde mu mulyango gw’Eweema, bonna ne basituka ne basinza, buli omu mu mulyango gw’eweema ye.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abantu bonna ne balaba empagi ey'ekire ng'eyimiridde ku mulyango gw'Eweema, abantu bonna ne bayimuka ne basinza, buli muntu mu mulyango gw'eweema ye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abantu bonna bwe baalabanga empagi ey'ekire ng'eyimiridde ku mulyango gw'Eweema Entukuvu, nga basituka, ne basinziza ku miryango gy'eweema zaabwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abantu bonna ne balaba empagi ey'ekire ng'eyimiridde ku mulyango gw'Eweema: abantu bonna ne bayimuka ne basinza, buli muntu mu mulyango gw'eweema ye.