Exodus 33:11 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama n'ayogeranga ne Musa maaso na maaso, ng'omuntu bw'ayogera ne mukwano gwe. Awo Musa n'addayo mu lusiisira; naye omuvubuka Yoswa eyali omuyambi we, mutabani wa Nuunu, ye teyavanga mu Weema.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bw’atyo Mukama bwe yayogeranga ne Musa nga batunulaganye, ng’omuntu bw’ayogera ne mukwano gwe. Musa bwe yaddangayo mu lusiisira, omuweereza we, omuvubuka Yoswa mutabani wa Nuuni, ye n’asigalayo mu Weema.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama n'ayogeranga ne Musa butereevu, ng'omuntu bw'ayogera ne mukwano gwe. N'addangayo mu lusiisira nate; naye omuweereza we Yoswa, omwana wa Nuuni, omuvubuka, teyavanga mu Weema.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama n'ayogeranga ne Musa butereevu, ng'omuntu bw'ayogera ne mukwano gwe. Oluvannyuma Musa yaddangayo mu lusiisira. Naye omuweereza we, omuvubuka Yoswa, mutabani wa Nuuni, yasigalanga mu Weema Entukuvu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama n'ayogeranga ne Musa nga balabagana mu maaso, ng'omuntu bw'ayogera ne mukwano gwe. N'addangayo mu lusiisira nate: naye omuweereza we, Yoswa, omwana wa Nuni, omuvubuka, teyavanga mu Weema.