Exodus 33:12 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Musa n'agamba Omukama nti: “Wuuno kati oŋŋamba nti: ‘Tambuza abantu bano’, naye tombuulidde gw'onoosindika kugenda nange. Ggwe wennyini ogambye nti: ‘Nkumanyi erinnya, era osanze ekisa mu maaso gange.’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Musa n’agamba Mukama nti, “Obadde ontegeeza nti, ‘Kulembera abantu bano,’ naye omuntu gw’onontuma naye tomuntegeezezza. Ogambye nti, ‘Nkumanyi awamu n’erinnya lyo, era onsanyusizza.’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Musa n'agamba Mukama nti, “Laba, ondagira nti, ‘Twala abantu bano;’ n'otoŋŋanya kumanya gw'onootuma awamu nange. Naye wayogera nti, ‘Nkumanyi erinnya, era walaba ekisa mu maaso gange.’
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Musa n'agamba Mukama nti: “Kale oŋŋamba nti: ‘Twala abantu bano.’ Naye n'otombuulira gw'onootuma wamu nange, ate nga wagamba nti ommanyi bulungi, era nsiimibwa mu maaso go.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Musa n'agamba Mukama nti Laba, ondagira nti Twala abantu bano: n'otoŋŋanya kumanya gw'onootuma awamu nange. Naye wayogera nti Nkumanyi erinnya, era walaba ekisa mu maaso gange.