Exodus 33:13 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kale nno obanga nsanze ekisa mu maaso go, nkwegayiridde ndaga amakubo go, ndyoke nnyongere okukutegeera n'okusanga ekisa mu maaso go. Jjukira nti eggwanga lino bantu bo ku bubwo.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Obanga nkusanyusizza, njigiriza amakubo go ndyoke nkumanye era nneeyongeranga okukusanyusa. Jjukira nti eggwanga lino be bantu bo.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale kaakano, nkwegayiridde, bwe mba nga nnalaba ekisa mu maaso go, ondage amakubo go nkumanye, ndyoke ndabe ekisa mu maaso go: era lowooza ng'eggwanga lino bantu bo.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale kaakano, nkwegayiridde, oba nga nsiimibwa mu maaso go, ntegeeza by'oyagala nkole, ndyoke nkuweereze, nnyongere okusiimibwa mu maaso go. Era jjukira ng'eggwanga lino bantu bo.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale kaakano, nkwegayiridde, bwe mba nga nalaba ekisa mu maaso go, ondage amakubo go, nkumanye, ndyoke ndabe ekisa mu maaso go: era lowooza ng'eggwanga lino bantu bo.