Exodus 33:16 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Banaamanya batya oba nti nze n'abantu bo twasanga ekisa mu maaso go bw'otojje naffe? Tunaayawulirwa ku ki, nze n'abantu bo, ku bantu bonna abali ku nsi?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kale abantu balitegeerera ku ki nga Nkusanyusizza, nze n’abantu bo? Si lwa kubanga onooba ogenze naffe, ne tuba ba njawulo, nze n’abantu bo, nga twawukana ku bantu bonna ab’oku nsi?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bw'otoligenda naffe abantu balimanyira ku ki nti nze n'abantu bo twalaba ekisa mu maaso go? Bw'onoogenda naffe ekyo kye kiritwawula, nze n'abantu bo ku bantu abalala bonna abali ku nsi.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
kubanga balimanya batya nti nze n'abantu bo, tusiimibwa mu maaso go, bw'otogenda wamu naffe? Ggwe okubeera awamu naffe, kye kinaatwawulanga mu bantu abalala bonna ku nsi.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga kiritegeerebwa kitya nga nze nalaba ekisa mu maaso go, nze n'abantu bo? si kyekiriva kitegeerebwa kubanga ogenda naffe, n'okwawulwa ne twawulibwa, nze n'abantu bo, mu bantu bonna abali ku maaso g'ensi?