Exodus 33:22 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ekitiibwa kyange bwe kinaaba kiyitawo, nzija kukussa mu lwatika lw'olwazi, nkusiikirize n'ekibatu okutuusa nga mpiseewo,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ekitiibwa kyange bwe kinaaba kiyitawo, nnaakuteeka mu mpataanya mu lwazi, ne nkubikkako omukono gwange okutuusa lwe nnaamala okuyitawo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
awo olunaatuuka ekitiibwa kyange bwe kinaabanga kiyita, nnaakuteeka mu lwatika lw'omu jjinja, ne nkubikkako n'omukono gwange okutuusa bwe nnaaba nga mpiseewo;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe nnaaba mpitawo mu kitiibwa kyange, nja kukuteeka mu mwagaanya oguli mu jjinja, nkubikkeko ekibatu kyange, okutuusa nga mmaze okuyitawo,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
awo olunaatuuka ekitiibwa kyange bwe kinaaba nga kiyita, naakuteeka mu lwatika lw'omu jjinja, ne nkubikkako n'omukono gwange okutuusa bwe nnaaba nga mpiseewo: