Exodus 33:3 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mugende mu nsi ekulukuta amata n'omubisi gw'enjuki. Kyokka nze sijja kugenda nammwe. Muli bantu ba nsingo nkakanyavu, sikulwa nga mbawemmentera mu kkubo.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yambuka mu nsi ekulukutiramu amata n’omubisi gw’enjuki. Naye sijja kugenda nammwe; sirwa kubazikiririza mu kkubo, kubanga muli bantu ab’ensingo enkakanyavu.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
mu nsi ekulukuta n'amata n'omubisi gw'enjuki; kubanga nze siririnnya wakati mu mmwe; kubanga oli ggwanga eririna ensingo enkakanyavu, nneme okukuzikiririza mu kkubo.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Muyingire mu nsi engagga era engimu. Naye nze sijja kugenda wamu nammwe, sikulwa nga mbazikiririza mu kkubo, kubanga muli bantu ba mitima mikakanyavu.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
mu nsi ekulukuta n'amata n'omubisi gw'enjuki: kubanga nze siririnnya wakati mu mumwe; kubanga oli ggwanga eririna ensingo enkakanyavu: nneme okukuzikiriza mu kkubo.