Exodus 33:4 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abantu bwe baawulira ebigambo bino ebigumu, ne badda mu kukaaba; era tewaali n'omu yayambala bya kwewoomya.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abantu bwe baawulira amawulire ago ag’ennaku, ne bakungubaga ne watabaawo ayambala eby’omu matu wadde eby’oku mikono ebyokwewoomya.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abantu bwe baawulira ebigambo ebyo ebibi, ne banakuwala; ne wataba muntu ayambala eby'obuyonjo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abantu bwe baawulira ebigambo ebyo ebinakuwaza ne banakuwala, ne wataba n'omu ayambala bya kwewoomya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abantu bwe baawulira ebigambo ebyo ebibi, ne banakuwala: ne wataba muntu ayambala eby'obuyonjo bye.