Exodus 33:5 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo Omukama n'agamba Musa nti: “Gamba Abayisirayeli nti: ‘Muli bantu ba nsingo nkakanyavu. Mba kugenda nammwe, wadde akaseera obuseera, nandibawemmense. Kale mwambule eby'okwewoomya, nze nzija kulaba nga bwe nnaabakola.’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga Mukama yali alagidde Musa nti, “Gamba abaana ba Isirayiri nti, ‘Mulina omutima omukakanyavu, era singa ntambula nammwe okumala akaseera wadde katono katya, nzija kubazikiriza. Kale kaakano mweyambulemu ebyokwewoomya byammwe, ndyoke ndabe kye nnaakola.’ ”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama n'agamba Musa nti, “Gamba abaana ba Isiraeri nti, ‘Muli ggwanga eririna ensingo enkakanyavu; mbeera kulinnya wakati mu ggwe newakubadde akaseera akatono, nandikuzikirizza; kale kaakano yambula eby'obuyonjo byo, ndyoke ntegeere bwe nnaakukola.’ ”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama yagamba Musa nti: “Gamba Abayisirayeli nti: ‘Muli bantu ba mitima mikakanyavu. Mbeera kugenda nammwe wadde akaseera akatono, nandibazikirizza. Kale kaakano mweyambulemu eby'okwewoomya, ndyoke ndabe kye nnaabakolera.’ ”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama n'agamba Musa nti Gamba abaana ba Isiraeri nti Muli ggwanga eririna ensingo enkakanyavu: mbeera kulinnya wakati mu ggwe newakubadde akaseera akatono, nandikuzikirizza: kale kaakano yambula eby'obuyonjo byo, ndyoke ntegeere bwe nnaakukola.