Exodus 33:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Musa yaddiranga Weema n'agikomerera ebweru w'olusiisira, nga yeesudde okuva ku lusiisira, n'agiyita Weema ey'Ensisinkano. Buli yenna eyayagalanga okwebuuza ku Mukama, yafulumanga n'alaga eri Weema ey'Ensisinkano, wabweru w'olusiisira.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kale, Musa yaddiranga eweema n’agisimba ebweru w’olusiisira, ewala ddala n’olusiisira; n’agiyita Eweema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu. Ne buli eyeetaaganga Mukama, ng’agenda awali Eweema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu, eyali ebweru w’olusiisira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Musa yatwalanga eweema n'agisimba ebweru w'olusiisira, walako n'olusiisira; n'agiyita Eweema ey'okusisinkanirangamu. Era buli eyanoonyanga Mukama n'afulumanga n'agenda mu weema ey'okusisinkanirangamu, eyali ebweru w'olusiisira.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abayisirayeli buli lwe baasiisiranga, Musa yatwalanga Eweema Entukuvu, n'agisimba walako ebweru w'olusiisira. Yagituuma Eweema ey'okusisinkanirangamu Mukama. Era buli muntu eyayagalanga okwebuuza ku Mukama, yagendanga gy'eri, ebweru w'olusiisira.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)