Exodus 33:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Buli Musa lwe yafulumanga okulaga eri Weema, abantu bonna nga basituka, buli muntu ng'ayimirira mu mulyango gwa weema ye n'atunuulira Musa okutuusa lwe yayingiranga mu Weema.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era buli Musa lwe yafulumanga n’alaga eri Eweema, abantu bonna nga bayimirira mu miryango gy’eweema zaabwe ne batunuulira Musa okutuusa lwe yayingiranga mu Weema.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era Musa bwe yafulumanga n'agenda mu Weema, abantu bonna ne bagolokokanga ne bayimirira, buli muntu mu mulyango gw'eweema ye, n'atunuulira Musa, okutuusa bwe yamalanga okuyingira mu Weema.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Musa buli lwe yafulumanga olusiisira okulaga mu Weema eyo, abantu bonna baasitukanga, ne bayimirira ku mulyango gw'eweema zaabwe, ne batunuulira Musa, okutuusa lwe yamalanga okuyingiramu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era Musa bwe yafulumanga n'agendanga mu Weema, abantu bonna ne bagolokokanga ne bayimirira, buli muntu mu mulyango gw'eweema ye, n'atunuulira Musa, okutuusa bwe yamalanga okuyingira mu Weema.