Exodus 33:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Buli Musa lwe yayingiranga mu Weema, empagi y'ekire yakkanga ne yeesimba ku mulyango gwa Weema, Omukama n'ayogera ne Musa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Musa bwe yayingiranga mu Weema, empagi ey’ekire n’ekka n’eyimirira mu mulyango gw’Eweema; Mukama n’alyoka ayogera ne Musa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Musa bwe yayingiranga mu Weema, empagi ey'ekire n'ekka n'eyimirira ku mulyango gw'Eweema, Mukama n'ayogera ne Musa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Musa bwe yamalanga okuyingira mu Weema Entukuvu, empagi ey'ekire yakkanga, n'eyimirira ku mulyango gw'Eweema eyo, Mukama n'ayogera ne Musa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Musa bwe yayingiranga mu Weema, empagi ey'ekire n'ekka n'eyimirira ku mulyango gw'Eweema: Mukama n'ayogera ne Musa.