Exodus 34:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama n'agamba nti: “Laba nkola naawe endagaano. Mu maaso g'abantu bonna nzija kukola ebyewuunyisa bingi ebitakolebwanga mu nsi ndala oba mu ggwanga ddala. Abantu bonna mw'oli baliraba Omukama ky'akola, kubanga by'alikukolera biriba bya ntiisa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Mukama n’addamu nti, “Laba, nkola naawe endagaano. Nzija kukolera mu bantu bo ebyamagero ebitakolwangako mu nsi yonna, wadde mu ggwanga lyonna. Abantu bonna b’oli nabo banaalaba eby’ekitalo Mukama by’anaakolera mu ggwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'ayogera nti, “Laba, ndagaana endagaano; mu maaso g'abantu bo bonna naakolanga eby'amagero, ebitakolebwanga mu nsi zonna, newakubadde mu ggwanga lyonna lyonna; n'abantu bonna b'olimu banaalabanga omulimu gwa Mukama, kubanga kye ndikukozesa kya ntiisa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama n'agamba nti: “Kaakano nkola endagaano n'Abayisirayeli. Mu maaso gaabwe bonna, nnaakolanga ebyamagero ebitakolebwanga mu nsi yonna, wadde mu ggwanga eddala lyonna. Era abantu bonna ababeetoolodde, banaalabanga ebikulu, Nze Mukama bye nkola, kubanga kye ndibakolera mmwe kya ntiisa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'ayogera nti Laba, ndagaana endagaano: mu maaso g'abantu bo bonna naakolanga eby'amagero, ebitakolebwanga mu nsi zonna, newakubadde mu ggwanga lyonna lyonna: n'abantu bonna b'olimu banaalabanga omulimu gwa Mukama, kubanga kye ndikukoza kya ntiisa.