Exodus 34:12 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Wekkaanye: tokolanga endagaano ne bannansi b'omu nsi eyo gy'ogenda okuyingiramu sikulwa nga babafuukira omutego mu makkati gammwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kirungi weekuume oleme kukola ndagaano n’abatuuze ab’omu nsi gy’olagamu, kubanga bayinza okubafuukira omutego.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Weekuume wekka, tolagaananga ndagaano n'abo abali mu nsi gy'ogenda, ereme okuba ng'ekyambika wakati mu ggwe;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mwekuume, muleme okukola endagaano n'abantu abali mu nsi gye mulagamu, endagaano eyo ereme kubasuula mmwe mu mutego.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Weekuume wekka, tolagaananga ndagaano n'abo abali mu nsi gy'ogenda, ereme okuba ng'ekyambika wakati mu ggwe: