Exodus 34:13 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye emyaliiro gyabwe mugimenyangawo, amayinja gaabwe agayimiridde mugaasaayasanga, n'empagi zaabwe eza Asera muzitemanga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Olimenyaamenya ebyoto byabwe, obetente empagi zaabwe, n’otemaatema ebifaananyi byabwe ebibajje bye basinza.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
naye mulimenyaamenya ebyoto byabwe, era mulyasayasa empagi zaabwe, era mulitemaatema Baasera baabwe;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye mulimenya alutaari zaabwe, mulizikiriza empagi zaabwe, era mulitemaatema ebifaananyi bya lubaale waabwe Asera.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
naye mulimenyaamenya ebyoto byabwe, era mulyasayasa empagi zaabwe, era mulitemaatema Baasera baabwe: