Exodus 34:15 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Tokolanga endagaano ne bannansi b'omu nsi eyo, sikulwa nga bwe bakola obwamalaaya ne balubaale baabwe ne babatambirira, babayita ne mugabana ku bitambiro byabwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Temukolanga ndagaano ey’okukolagana n’abatuuze b’omu nsi omwo. Kubanga bwe baliba bagoberera bakatonda baabwe, nga bawaayo ssaddaaka, gamba omu ku bo n’abayita, mulirya ku biweebwayo byabwe ebyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
tolagaananga ndagaano n'abo abali mu nsi, baleme okwenda nga bagoberera bakatonda baabwe, ne bawa bakatonda baabwe ssaddaaka, ne wabaawo akuyita n'olya ku ssaddaaka ye;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Temuukolenga ndagaano na bannansi, sikulwa nga bwe baliba bawaayo ebitambiro eri balubaale baabwe be basinza, balibayita okulya ku bitambiro ebyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
tolagaananga ndagaano n'abo abali mu nsi, baleme okwenda nga bagoberera bakatonda baabwe, ne babawa ssaddaaka bakatonda baabwe, ne wabaawo akuyita n'olya ku ssaddaaka ye;