Exodus 34:16 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Sikulwa nga batabani bo obafunira abakazi mu bawala baabwe; bo bwe balimala okukola obwamalaaya ne balubaale baabwe, ne bakoza batabani bo obwamalaaya ne balubaale baabwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era bwe muliwasiza batabani bammwe abamu ku bawala baabwe, abawala abo ne bagoberera bakatonda baabwe, balireetera batabani bammwe nabo okukola bwe batyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era sikulwa nga muwasiza batabani bammwe abakazi mu bantu abo, abakazi ne baleetera batabani bammwe okunvaako, ne basinza bakatonda baabwe.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era sikulwa nga muwasiza batabani bammwe abakazi mu bantu abo, abakazi ne baleetera batabani bammwe okunvaako, ne basinza balubaale baabwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
n'otwalira abaana bo abasajja ku bawala baabwe, abawala baabwe ne bayenda nga bagoberera bakatonda baabwe, ne babayenza abaana bo nga bagoberera bakatonda baabwe,