Exodus 34:20 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye endogoyi eggula enda oginunuzangayo akaliga: bw'obanga tooginunule, ogimenyanga ensingo. Na buli mutabani wo omuggulanda omununulanga; tewabanga n'omu alabika mu maaso gange ngalo nsa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Endogoyi embereberye onoozinunulanga n’endiga, naye nga toginunudde ogimenyanga ensingo n’ogitta. Abaana bo abaggulanda bonna obanunulanga. Era tewabanga ajja gye ndi engalo ensa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'omwana omubereberye ogw'endogoyi onoomununulanga n'omwana gw'endiga; era bw'onoobanga toyagala kumununula, onoomenyanga ensingo yaayo. Onoonunulanga ababereberye bonna mu baana bo. So tewaabenga eyeeraga eri nze nga taleese kintu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye endogoyi esooka okuzaalibwa, munaaginunulanga nga muwaayo omwana gw'endiga. Bwe munaabanga temwagala kuginunula, munaagimenyanga ensingo. Buli mwana ow'obulenzi omuggulanda, munaamununulanga. Tewaabenga ajja mu maaso gange ngalo nsa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'omwana omubereberye ogw'endogoyi onoomununulanga n'omwana gw'endiga: era bw'onoobanga toyagala kumununula, onoomenyanga obulago bwayo. Onoonunulanga ababereberye bonna mu baana bo. So tewaabenga eyeeraga eri nze nga taleese kintu.