Exodus 34:24 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Anti bwe ndimala okukuggyirawo amawanga n'okugaziya ensalo zo, tewaliba yeegomba nsi yo ng'ogenze okweyoleka mu maaso g'Omukama emirundi esatu buli mwaka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Amawanga ŋŋenda kugagobawo wonna we muli, era ndigaziya n’ensalo zammwe. So tewalibaawo ayagala kutwala nsi yammwe nga mwambuse okulabika awali Mukama Katonda wammwe emirundi egyo esatu mu mwaka.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga ndigobamu amawanga mu maaso go, ne ngaziya ensalo zo; so tewaabenga muntu alyegomba ensi yo, bw'onoogendanga okulabika mu maaso ga Mukama Katonda wo emirundi esatu buli mwaka.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe ndimala okugoba ab'amawanga amalala nga mulaba, ne ngaziya ensalo z'ensi yammwe, tewaabenga n'omu agezaako kuwangula nsi yammwe, bwe munaabanga muzze okunsinza nze Mukama, Katonda wammwe, emirundi esatu buli mwaka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga ndigobamu amawanga mu maaso go, ne ngaziya ensalo zo: so tewaabenga muntu alyegomba ensi yo, bw'onoogendanga okulabika mu maaso ga Mukama Katonda wo emirundi esatu buli mwaka.