Exodus 34:25 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Ekitambiro kyange eky'omusaayi totambirirangako kizimbulukusa, n'ekitambiro ekiweerezebwa ku Mbaga ya Pasika tekisulangawo okutuusa enkeera.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Temuwangayo kintu kyonna gye ndi ekirimu ekizimbulukusa nga mundeetedde ssaddaaka erimu omusaayi; era ennyama ya ssaddaaka ey’Embaga y’Okuyitako tesigalangawo kutuusa nkeera.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Towangayo musaayi gwa ssaddaaka yange wamu n'omugaati oguzimbulukusiddwa; newakubadde ssaddaaka ey'embaga ey'Okuyitako tesigalangako okutuusa enkya.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Ekitambiro ky'ensolo kye mumpa, temuukimpeerengako migaati gizimbulukusiddwa. Era temuukuumenga okutuusa enkeera ekitundu ky'ensolo gye mutta ku Mbaga Ejjuukirirwako Okuyitako.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Towangayo musaayi gwa ssaddaaka yange wamu n'omugaati oguzimbulukuswa; newakubadde ssaddaaka ey'embaga ey'Okuyitako tesigalangako okutuusa enkya.