Exodus 34:26 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Ebibala ebisooka ebisinga obulungi eby'ettaka lyo obitwalanga mu nnyumba y'Omukama Katonda wo. Tofumbiranga kabuzi mu mata ga nnyina waako.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Ebibala ebisinga obulungi mu ebyo ebisoose okuva mu ttaka lyo obitwalanga mu nnyumba ya Mukama Katonda wo. “Omwana gw’embuzi togufumbiranga mu mata ga nnyina waagwo.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Eby'olubereberye eby'ensi yo ebisooka onoobireetanga mu nnyumba ya Mukama Katonda wo. Tofumbiranga omwana gw'embuzi mu mata ga nnyina waagwo.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Muleetanga mu nnyumba ya Mukama, Katonda wammwe, ebibala by'ennimiro zammwe ebisooka okukungulwa. “Temuufumbenga mbuzi nto mu mata ga nnyina waayo.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Eby'olubereberye eby'ensi yo ebisooka onoobireetanga mu nnyumba ya Mukama Katonda wo. Tofumbiranga omwana gw'embuzi mu mata ga nnyina waagwo.