Exodus 34:27 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama yagamba Musa nti: “Wandiika ebigambo bino, kubanga nga bwe biri bwe nkoze Endagaano naawe ne Yisirayeli.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Mukama n’agamba Musa nti, “Wandiika ebigambo ebyo; kubanga nkoze endagaano naawe era ne Isirayiri ng’ebigambo ebyo bwe bigamba.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama n'agamba Musa nti, “Ggwe wandiika ebigambo ebyo; kuba ebigambo ebyo nga bwe biri bwe ndagaanye bwe ntyo endagaano naawe ne Isiraeri.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama n'agamba Musa nti: “Wandiika ebigambo ebyo, kubanga ebigambo ebyo bye neesigamizzaako endagaano gye nkoze naawe, era ne Yisirayeli.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama n'agamba Musa nti Ggwe wandiika ebigambo ebyo: kuba ebigambo ebyo nga bwe biri bwe ndagaanye bwe ntyo endagaano naawe ne Isiraeri.