Exodus 34:28 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Musa yasigala n'Omukama okumala ennaku amakumi ana n'ebiro amakumi ana, nga talidde mugaati wadde okunywa otuzzi. N'awandiika ku mpande ebigambo by'Endagaano, Ebigambo Ekkumi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Musa n’abeera eyo ne Mukama, n’amalayo emisana amakumi ana n’ebiro amakumi ana, nga talya mmere wadde okunywa amazzi. N’awandiika ku bipande ebigambo eby’Endagaano, ge Mateeka Ekkumi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'amala eyo wamu ne Mukama ennaku ana (40) emisana n'ekiro; nga talya mmere so nga tanywa mazzi. N'awandiika ku bipande ebigambo eby'endagaano, amateeka ekkumi (10).
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Musa n'amala eyo wamu ne Mukama ennaku amakumi ana emisana n'ekiro, nga talya era nga tanywa. N'awandiika ku bipande by'amayinja ebigambo eby'endagaano, Ebiragiro Ekkumi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'amala eyo wamu ne Mukama ennaku amakumi ana emisana n'ekiro; nga talya mmere so nga tanywa mazzi. N'awandiika ku bipande ebigambo eby'endagaano, amateeka ekkumi.