Exodus 34:29 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Musa bwe yaserengeta ng'ava ku lusozi Sinayi, yajja akutte mu ngalo ze, empande ebbiri ez'Endagaano; teyamanya ng'olususu lw'ekyenyi kye lwali lutangalijja oluvannyuma lw'okunyumya n'Omukama.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Musa bwe yaserengeta okuva ku lusozi Sinaayi ng’akutte mu ngalo ze ebipande byombi eby’Endagaano, teyakimanya ng’obwenyi bwe bwali bumasamasa kubanga yali ayogedde ne Mukama.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo olwatuuka Musa bwe yakka okuva ku lusozi Sinaayi, ebipande bibiri eby'obujulirwa nga biri mu ngalo ze; Musa n'atamanya ng'obwenyi bwe bumasamasa olw'okwogera ne Katonda.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Musa bwe yakka okuva ku Lusozi Sinaayi, ng'akutte ebipande by'amayinja, ebiriko Ebiragiro Ekkumi, teyamanya nti ekyenyi kye kyali kyakaayakana, kubanga yali ayogedde ne Mukama.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olwatuuka Musa bwe yakka okuva ku lusozi Sinaayi, ebipande bibiri eby'obujulirwa nga biri mu ngalo za Musa, bwe yakka okuva ku lusozi, Musa n'atamanya ng'omubiri ogw'amaaso ge gumasamasa olw'okwogera naye.