Exodus 34:3 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Tewabaawo alinnya naawe; tewalabika omuntu n'omu ku lusozi, wadde endiga oba ente si za kuliira mu maaso ga lusozi luno.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Tewasaana kubaawo muntu ajja naawe, era ku lusozi wonna wonna tewasaana kulabikawo muntu n’omu; era n’amagana n’ebisibo by’endiga tebisaana kuliira mu maaso ga lusozi.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
So tewaabe muntu alinnya naawe, so n'omuntu yenna aleme okulabikira ku lusozi lwonna lwonna; newakubadde endiga newakubadde ente bireme okuliira mu maaso g'olusozi olwo.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Tewaba muntu ayambuka naawe, era tewaba n'omu alabikako mu bitundu byonna eby'olusozi, era tewaba endiga wadde ente eziriira mu maaso g'olusozi olwo.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
So tewaabe muntu alinnya naawe, so n'omuntu yenna aleme okulabikira ku lusozi lwonna lwonna; newakubadde endiga newakubadde ente bireme okuliira mu maaso g'olusozi olwo.